OKWESIMBAWO KU BIFO: Waliwo abalabudde abakulembeze ba NUP
Waliwo abalabudde nti ekibiina ki NUP kyandinafuwa olw'abamu ku bakulembeze baakyo okusalawo okwesimbawo ku bifo by'obufuzi. Abalondoola ebyobufuzi abakubye tooki mu mbeera eno bagamba nti abakulembeze b'ekibiina abeesimbyewo bajja kuba n'obuvunaanyizibwa bungi obujja okubalemesa okulowooleza ekibiina n'okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwabwe obulungi.