Omulambo gw’owa bodaboda eyattibwa bbomu famire egututte
Ab'oluganda ba Ismail Basibe owa Boda-Boda eyafira mu bulumbaganyi bwa bomu wiiki ewedde kyadaaki bamaze nebalabika nebawebwa omulambo gw'omuntu wabwe. Ku ntandikwa ya wiiki eno poliisi yali yategeza nga bwekyatubidde n'omulambo guno. Basibe yali agenze kubanja Pikipiki ye eyali ekwatiddwa bweyasangibwa nga ayisiza mu saawa eziragirwa eza kaafiyu. Wabula bano basabye gavumenti ebaddukirire n'okuyamba famire y'omungenzi gyalese omuli abakyala babiri n'abaana