Omukazi e Kamuli asazeeko obusajja bwa bba
Police y’e Kamuli eri mu kuyigga omukyala wa myaka 34 agambibwa okusalako obusajja bw’omwami we nga entabwe egambibwa okuba nga eva ku kya musajja kufunayo mukyala omulala oluvannyuma lwa mukyala mukulu okuba nga abadde tayagala baaludda lwa musajja. Ono awenjebwa kuggulwako musango gw’okugezaako okutta omuntu. Mu kiseera kino omwami ali mu ddwaaliro e Kamuli ajjanjabwa. Abatuuze bagamba ebikolwa by’okusalako abasajja ebitundu by’ensonyi byeyongedde mu kitundu ate poliisi egamba ono aliko n’ensimbi ze yakuuliise nazo.