Olutalo ku ssiriimu: bannassaayansi batandise okwekennenya enkola ya gene therapy
Kati emyaka kyenkana gisemberedde okuwera 40 nga bannasaayansi munsi yonna batuuyana okunoonya eddagala eriyinza okuvumula obulwadde bwa mukenenya, kyokka nakati mpaawo kyamakulu kyazuuliddwa. Abakugu bagamba nti ekisinze okukosa ennyo omulimu guno kwekuba nti akawuka kano bwekayingira mu muntu kekwekera ddala mu bifo by’omubiri ebitali byangu bya kutuukamu gamba nga obusomyo. Kati abakugu bagamba nti batandise okwekeneenya bazuule oba kisoboka okuwonya mukenenya nga bayita mu kukyusa ensengeka luse oba “Genes” mu nkola emanyiddwa nga Gene therapy.