OKWETEGEKERA LIIGI: David Mutono kati ye mutendesi wa Gaddafi Fc
Okuvaako mu kibuga ky'ejjjinja , ttimu ya Gadaffi FC nayo eyanjude omutendesi David Mutono nga yetegekera okuvuganya ku kikopo mu liigi etandika ku lw'okutano lwa sabiiti eno.Bano era banjudde abazannyi Andrew Ssekandi, Herbert Onyango ne Ibrahim Kiyimba eri abawagizi nga omu ku kawefube okwongera amaanyi mu ttimu.Gadaffi yakugulawo nabalina ekikopo kya liigi aba Vipers Sports Club ku Sunday e Jinja.