OKWETEGEKERA EZA COMMONWEALTH :Abazannyi ba tenna 8 beesozze ez’akamalirizo
Abazannyi ba tenna w’okummeeza munaana olwaleero be bayiseewo okuyingira empaka ez’akamalirizo mwe banajja abazannyi omukaaga abagenda e Buyindi ku nkomerero y’omwezi ogujja. Bano baakwetaba mu mpaka ezinaabayisaawo okukiika mu Commonwealth Games ezinayindira e Bungereza omwaka guno. Abazannyi bano basunsuddwa mu mpaka z’eggwanga eziyindidde e Lugogo olwaleero. Abamu ku bayiseewo kuliko Parvin Nangozi, Ludiya Natunga, Sam Mbabazi, Juma Wabugoya ne Jemimah Nakawala.