OKWETEGEKERA EZ’AMASAZA: Buweekula erangiridde abatendesi baayo
Abakulembeze ba tiimu y’esaaza lya Buwekula balangiridde abatendesi abagenda okutendeka tiimu yaabwe mu mpaka za masaza ga Buganda ez’omwaka guno ezisubirwa okutandika ku nkomerereo y’omwezi guno. Bano bakomezawo omutendesi Frank Mulindwa eyabatusa ku luzanya olwakamalirirzo mu mpaka z'omwaka oguwedde nga wakuyambibwako eyali omukwasi wa goolo ya Cranes Hamza Muwonge wamu nabatendesi abalala babiri. Buwekula era banjudde aba Kampuni ya GTC Cargos nag abavigirizi batiimu yaabwe abakulu.