Okwerinda obutujju, amagye ne poliisi gasazeeko ekyalo Jimbo, gaazizza amayumba
Wabaddewo obunkenke ku kyalo Jimbo ekisangibwa mu muluka gwe Lukwanga mu disitulikiti ye Wakiso, amagye ne poliisi bwe bisazeeko amaka agamu agabadde gateeberezebwa okukolerwamu bbomu enkolerere.Abebyokwerinda bakozesezza embwa ezikonga olusu okwaza n'amayuba g'abatuuze mu kitundu kino wabula nga tewali kizuuliddwa.Amyuka omwogezi wa Poliisi mu Kampala N'emiriraano Luke Owoyesigyire ategeezezza nti yadde nga teri kye bazudde baakusigala nga banoonyereza mpozi n'okukuumira amaaso ku nnyumba eno.