Andrew Nuwamanya: Emyaka 10 gy’amaze mu kkomera akuguse mu by’okutunga
Waliwo omuvubuka ayitibwa Andrew Nuwamanya okuva mu district ye Kiruhura, eyeekubidde enduulu ngayagala kuyambibwa asobole okufuna watandikira oluvannyuma lw'okusibwa obwemage mu kkomera e Luzira okumala emyaka 10.Nuwamanya ono yakwatibwa wa myaka 17 ku misango gy'ettemu bwatyo n'akaligibwa mu nkomyo nga abadde kyajje ayimbulwe omwezi oguwedde oluvannyuma lwa kkooti okukizuula nti tewali bujulizi bumuluma .Yadde ng'eby’okusoma bye byafa, Nuwamanya weyaviiridde mu kkomera ngakuguse mu by'okutunga era ng'ayagala bamukwatirako asobole okwetandikirawo emirmu gye okusobola okweyimirizaawo.