Ekisinde ky’ebyobufuzi ekipya, Eastern Revolutionary Front etongozeddwa e Kamuli
Waliwo ekisinde ekitongozeddwa mu Busoga nga kiyitibwa Eastern Revolutionary Platform nga kino kyakuyambako mu kukunga obuwagizi eri ab'oludda oluvuganya mu bitundu bino .Moses Bigirwa omu ku bali emabega w'ekisinde kino agamba nti buli kitundu kisaanye kisitukiremu okwekolamu omulimu okusobola okuleetawo enkyukakyuka eyeetaagisa mu by'obukulembeze.Eyaliko omubaka wa Kawempe South Mubarak Munyagwa asinzidde eno nakunga abasoga okuzuukuka okulaba nga nabo bagabana ku mugaati gweggwanga .