Luuluno olugendo lwa Annitah olw’okuva ku biragalalagala, agamba lubaddemu okusomoozebwa
Abantu abakozesezaako Ebiragalagala basanga okusoomoozebwa okubeerawo we bitali. Wabula mu mboozi eno tukuleetedde omukyala Annitah Raeywas nga munnansi wa Kenya eyatandika ebitamiiza ku myaka etaano gyokka ekyamuviirako okuyita mu bulumi obwenjawulo ngakula.Wabula ono kati amaze emyaka ebiri nga takozesa kitamiiza kyonna era nga mumalirivu obutadde mu mbeera gye yayitamu .