Enkaayana ku ttaka ly’e Nateete zeeraliikirizza abasuubuzi
KCCA etegeezezza nga bwegenda okuwandiikira minisitule y’ebyettaka okubayambako okuzuula nnannyini omutuufu ku ttaka okutudde akatale ke Nateete .Kino kiddiridde abasuubuzi mu katale kano okwekubira enduulu ku bagambibwa okuba bannyini ttaka okutudde akatale kano okulaalika abasuubuzi okukaamuka . Akatale kano kaliko ebyapa bibiri nga byona bikakasa obwananyini bwakatale kano .