Wuuno eyali mu gw’obulambuzi kati afuna mu mmwanyi
Wakati w’omwezi ogw’okuna n’omukaaga omwaka 2021, Uganda yalumbibwa ssenyiga corona eyamanyika ennyo nga Covid-19 abawerako ne bafa, kko n’okugotaanya emirimu.Mu bimu ku byasinga okukosebwa z’e ntmbula ez’omunda mu ggwanga kko n’abava e bweru- okukakana ng’ekisaawe kyebyobulambuzi ekyali kitinta kigutte ku ttaka.Mu mboozi eno tugenda kulaba omukazi Joyce Bukenya eyali atambuza abalambuzi kyoka olwa Covid-19, yakyuuka nadda mu kulima emwaanyi.