OKWEPENA ENTUULA ZA PALAMENTI: Amuriat agamba tebirina makulu
Pulezidenti w'ekibiina ki FDC Patrick Oboi Amuriat atubuulidde nti ye abakulira oludda oluvuganya mu palamenti tebamutuukirirangako kububuulira nga bwe balina ekigendererwa ekyepena entuula za palamenti.Kino kiddiridde bannaabwe ab'ekiwayi ky'e Katonga okuvaayo nebabalumiriza okwekwenyakwenya ku nsonga eno so nga omulamwa ogwabafulumya palamenti gukwatagana na ddembe lya buntu.Ab'e Katonga basuubizza n'okussaawo akakiiko kanoonyereze ku bannaabwe ab'e Najjanankumbi okumanya ensonga entuufu ekyabatuuza mu palamenti.