Okwemulugunya ku kamyufu:Akakiiko ka NRM kongezzaayo olunaku okuwulira emisango
Abakulu mu kakiiko akateekebwawo ssentebe wa NRM okuwulira ekwemulugunya kwabataamatira na byava mu kamyufu ka kibiina batugambye nti ku misangoi 381 gyebaakwasibwa, basigazzaayo 157 gyokka. Bano babadde balina okukomekkereza entuula zaabwe ku bbalaza, kyokka olw'abamu ku bawaaba e misango gyino okwebuzaabuza ne batalabikako, kati akakiiko kano kaakukomekkereza egyako ku Lw'okubiri , katekateeke ensala yaako ku misango gyonna.