Okwekalakaasa olw’obuli bwenguzi :Poliisi ekulinnyeemu eggere, abawerako bakwatiddwa
Abantu abatanamanyika muwendo be bakwatiddwa olwaleero, Ab'ebyokwerinda bwe babadde balemesa okwekalakaasa kwokulaga obutali bumativu olw'enguzi eyitiridde mu ggwanga. Bano bakwatiddwa mu bitundu bya Kampala ebyenjawulo nga bagezaako okutambula okwolekera Palamenti. Ababadde emabega w'okwekalakaasa kuno, bamaze ebbanga nga beeyambisa emikutu gya social media mu kukunga bannayuganda okukwetabamu.