OKWASA AMAYINJA :Ab’e ggombolola ye Magada batabukidde abakola oluguudo
Abatuuze mu Ggombolola y'e Magada mu disitulikiti y'e Namutumba bekalakasiza ne balumba ne kampuni ya Dott services. Bano babade baagala kampuni eno ebaliyirire olw'ebintu byabwe omuli n'amayumba gabwe ebyonoonese olw'amayinja kampuni eno geyasa mu kirombe ky'e Bukasa. Abamu ku bakulu mu kampuni ya Dott services basabye abatuuze bano okukakana nga ensonga zabwe bwezisalirwa amagezi.