OKWANJA EBY’OBUGAGGA: Beti Kamya agamba waliwo abeefuula bannampulirazibi
Abakulembeze abasoba mu 1000 n’abakozi ba gavumenti abali eyo mu mitwalo 15 baalemererwa okwanjula eby’obugagga byabwe omwaka oguwedde nga era kaliisoliiso wa gavumenti alinze beenyonnyoleko. Ofiisi ya Kaliisoliiso wa gavumenti egamba tebasuubira bantu bano kwekwasa nsonga ya muggalo kubanga enteekateeka esoboka okukolebwa okweyambisa tekinologiya. Olw'ebbula ly'ensimbi, omwaka guno ofiisi eno yakukola ku bakozi ba gavumenti n'abakulembeze 166 bokka.