OKUZZA OBUGGYA ENDAGA MUNTU: Aba NIRA bongezaayo enteekateeka
NIRA nga ky'ekitogole ekivunaanyizibwa ku kuwandiisa bannayuganda kyongezzaayo enteekateza z'okuzza obujja endagamuntu za bannayuganda okutuusa omwezi ogujja.Enteekateka eno yabadde erina kutandika nga 1 June wabula kino tekyabaddewo.Akulira NIRA Rosemary Kisembo omutawaana atubuulidde nti guvudde ku bikosezebwa byebaatumya ebitannaba kutuuka.Gavumenti eyagala kusooka okuzza-obujja endagamuntu za bantu obukadde 15 mu emitwalo 80 abasooka okufuna mu 2014 nga nyinji ku zo ziggwako wakati w'omwaka guno n'ogujja.