Okuzaaza abatazaala: Eddwaliro ly’abakyala e Mulago litandise empeereza ya IVF
Eddwaliro lya gavumenti ery'abakyala n'abaana li Mulago National Specialised Women’s and Neonatal Hospital lisobodde okuzaaza omwana ow'okubiri mu nkola eyitibwa IVF ng'eno eyamba abafumbo abalina embeera y'obutazaala okufuna abaana. Mu nkola eno mulimu okugatta enkwaso z'omusajja n'amagi g'omukyala n'oluvannyuma nebiteekebwa mu mukyala olwo n'afuna olubuto. Enkola eno emalawo ensimbi eziwera.