Okuyiwayiiwa ssente mu kulonda :Akakiiko k’ebyokulonda kasabye etteeka likolebwe
Akulira akakiiko k'ebyokulonda mu ggwanga, Omulamuzi Simon Byabakama agamba kyekiseera gavumenti eteekewo etteeka erirungamya ku muwendo gwa Ssente bannabyabufuzi ze basansanya mu kuwenja akalulu. Ono agamba ensimbi ennyingi bannabyabufuzi ze bateeka mu campaign kyekimu kubifudde akalulu okuba nga kaakufa na kuwona kko n'okulowoozesa abantu nti ebifo by'obukulembeze bya bagagga bokka. Ono, bannabyabufuzi bamwanukudde.