OKUYIWA ETTAKA MU NNYANJA: Aba NEMA beegaanye okuwa Sudhir olukkusa
Ab’ekitongole ekivunaanyizibwa ku butonde bw'ensi ki NEMA beegaanye ebyayogeddwa aba Ruparelia Group of Companies nti baafuna olukkusa okuyiwa ettaka mu nnyanja e Kitubulu. Aba Ruparelia bategeeza jjo nit bye bakola, omuli n’okuyiwa ettaka mu nnyanja biri mu mateeka nti era abo ababavumirira balwanyisa nkulaakulana. Abakulembeze mu kitundu kye Kitubulu mu Katabi Town Council bavuddeyo ku kino eky’okwonoona obutonde ne basaba abakwatibwako okusitukiramu.