Okuyamba ku massomero agakoseddwa omuggalo, bannamakkolero bawaddeyo kawumbi
Waliwo kampuni munaana ezivuddeyo okuyamba ku masomero olwomuggalo ogwaliwo ogwagaleka nga gayagga. Kampuni zino zisonze ssente ezisuka mu kawumbi kalamba. Kino kiddiridde olukungaana olwayitibwa Ministule y'ebyenjigiriza nga eyagala abesoboola okubaako kyebawaayo mu kuddukirira amasomero agakosebwa ennyo omuggalo. Kamouni eziwaddeyo mulimu Hariss International Limited, Kakira sugar, umeme limited, Nice house of plastics, Tororo cement, Bank of Baroda and Sugar cooperation of Uganda limited.