OKUYAMBA ABANOONYI B’OBUBUDDAMU: Waliwo entekateeka ereetebwa ku by’entambula
Gavumenti ya Uganda etandise okufulumya ekiwandiiko ekyefananyirizako passipota eri abanoonyi b'obubudamu ekinaabasoboseza okwetaaya nga bafuluma eggwanga. Akola nga kamiisona ku nsonga z’abanoonyi b'obubudamu mu wofiisi ya ssaabaminisita Durglas Asiimwe ategezeza nga gavumenti nga eyita mu kitongole kyayo ekikola ku pasipota bwegenda okutandika okwekenenya okusaba kw'abanoonyi b'obubudamu abetaaga ebiwandiiko bino. Asiimwe abadde akikiridde minisita avunaanyizibwa ku nsonga z'abanoonyi bibubudamu ku mukolo gw'okukuza olunaku lw'abanoonyi b'obubudamu ababeera mu kibuga oguyindidde ku ssomero lya Old Kampala SSS mu Kampala.