Okuwulira abeemulugunya mu kamyufu ka NRM, baminisita abaawawaabirwa beewozezzaako
Akakiiko akaatekebwawo okuwulira obutakaanya mu beetaba mu ka myufu ka NRM,kakutte olunaku olwokubiri nga kakola ku misango gino, kyoka nga leero kasinze kuwulira gya baminisita.Mu bakoleddwako leero kwekubadde minisita Jim Muhwezi ow’obutebenkevu, Diana Mutasingwa owa wofiisi y’amyuka omukulembeze we ggwanga , Milly Babalanda owa maka ga g’omukulembeze we ggwanga kko nabalala , nga bano bonna okulondebwa kwabwe kuliko akabuuza.Kati bano baakulinda ennaku musanvu okuva leero okumanya ebivudde mu kafubo kebabaddemu.