OKUVUGANYA KU BWA SIPIIKA: Basalirwa ne Malende beesowoddeyo ku ludda oluvuganya
Omubaka wa munisipaali ye Bugiri Asuman Basalirwa n'omubaka omukyala owa Kampala ow'ekibiina kya NUP Shamim Malende beebakeesowolayo okulaga nga bwebaagala okukwatira oludda oluvuganya gavumenti bendera mu kujjuza ekifo kya sipiika wa palamenti oluvanyuma lw’okufa kwa Jacob Oulanya. Ab’oludda oluvuganya bagamba baakusalawo anabakwatira bendera ku lwokuna lwa wiiki eno nga beetegekera okulonda kwa sipiika okw'olwokutaano.