OKUTAASA OBUTONDE: Kampeyini y’okuwera pulaasitika attuse
Abalwanirizi b'obutonde bazzeemu okujjukiza gav't n'abantu bonna okutwalira awamu ku bulabe obuli mu buveera. Bagamba nti obuveera busaanye buwerebwe omulundi gumu olwo abantu batandike okukozesa ebirala gamba nga obusawo obukole mu bipapula. Uganda yeemu ku nsi ezinga okubaamu obuveera obumansiddwa mu buli kanyomera, mu tawuni ennene n'entono nga n'emyala egyatwalanga amazzi gyonnna giregama lwa buveera ne kasasiro omulala atavunda