OKUTAASA OBUTONDE: Eklezia etandise kaweefube w’okusomesa abantu
Eklezia katolika mu ssaza lya Kasana Luwero etongozza kawefube w’okuzzaawo obutonde bwensi okuyita mu kusimba emiti n’okusomesa abantu ebikwata ku buttonde. Ssabasumba w’essaza ekulu erya Kampala Paul Ssemogerere agamba nti abantu basanyizaawo obutonde bwensi okuyita mu mirimu egy’enjawulo gamba ng’okwokya Amanda nga n’olwekyo kisaakye okubasomesa batandike okussa ekitiibwa mu butonde.