OKULWANYISA OMUSUJJA GW’ENSIRI: Ministule y’ebyobulamu etongozza kaweefube
Minisita omubeezi ow'ebyobulamu Hanifa Kawooya asabye abakulembeze ku mitendera egy’enjawulo okuteekawo amateeka agakangavvula abo abagaana okusula mu butimba obutangira ensiri. Ono agamba wewaawo gavumenti ekoze ogwaayo, waliwo abeefudde bakiwagi.Bino abyogedde atongoza enkola ey'okugaba obutimba mu bugwanjuba bwa Uganda nga omukolo guno gubadde Mbarara.