OKULWANYISA EBOLA: Ssaabasumba Anthony Zziwa akalaatidde abakrisitu obutagayaala
Mukaweefube w'okulwanyisa ekirwadde ekya Ebola mu ggwanga ,ekibiina ekitaba enzikiriza mu ggwanga olunaku olwaleero kisisinkanye abakulemebze benzikiriza ezenjawulo okuva mu disitulikiti ttaano okuli eye Mpigi, Gomba, Butambala, Mityana ne Kiboga nga babadde Mityana . Akulira ekibiina ekitaba enzikiriza era Ssaabasumba w'essaza lya Kiyinda MITYANA Anthony Zziwa asabye bannaddiini okubeera abasaale mu kulwayisa ekirwadde kino.