OKULWANYISA EBOLA E MUBENDE : Batandise okusomesa abayizi ku mbeera eriwo
Abakulembeze mu district y’e Mubende bategeezezza nga bwe batannatuuka ku kirowoozo kya kuggala masomero oluvannyuma lw’okubalukawo kw’ekirwadde kya Ebola mu district eno.Wabula, bbo abantu abeekengerwa okuba n’ekirwadde kino era abalondoolwa mu ddwaaliro ly’e Mubende baweze 16. Kyokka waliwo n’abaabadde beekengeddwa nti balina obubonero bw’ekirwadde abadduse ku ttiimu erondoola embeera.