OKULUMBAGANA POLIISI: Aba NUP besamudde eyattibwa e Kapeeka
Ab’ekibiina kya National Unity Platform begaanye okubaako n’akakwate konna ku Dennis Ssekimpi eyattibwa ab’ebyokwerinda ku byekuusa ku bulumbaganyi bw’ekapeeka omwafiira omujaasi wa UPDF. Mu kwogerakwe eri eggwanga wiiki ewedde, Pulezidenti Museveni y’ategeezezza nga Ssekimpi bwekyazuuliddwa nti mukulembeze wa NUP e Wakiso. Bob aba NUP bagamba balinze bukakafu ku byayogeddwa omukulu.