OKULONDA KWA UMSC: Kibuli erabudde ab’e mizikiti gyayo obutakwetabaamu
Abakulira ekiwayi ky’obusiramu ekye Kibuli balabudde abakulira emizigiti wansi wa Supreme Office obutageza kwetaba mu kulonda okutegekeddwa aba Uganda Muslim Supreme Council. Omwogezi w’ekiwayi ky’e Kibuli Dr Muhammad Kiggundu agamba nti ebigenda mu maaso bbo tebabimanyi, kale nga omuzigiti gwonna oguneenyigira mu kulonda kuno gujja kuba gumenye mateeka. Okulonda kuno kutegekeddwa aba Uganda Muslim Supreme Council kwakubaawo nga 18 omwezi guno.