Okulinnyirira enfuga y’amateeka, Kyagulanyi asabye bannamateeka obutasirika
Akulira ekibiina ki National Unity Platform Robert Kyagulanyi Ssentamu asomoozeza banamatteka okukoma okufuuka bakyesirikidde nga balaba eddembe ly'obuntu lityoboolwa mu ggwanga.Kyagulanyi agambye nti bannamateeka basaale nnyo mu kukakasa enkwasisa y'amateeka enung'amu, kale nga bwebasirika nga waliwo abanyigirizibwa kyongera okukuba ebituli mu nfuga eyamateeka.Okwogera bino kyagulanyi abadde ayogerako ne bannamateeka wansi wekibiina ekibagatta ki Uganda Law Society.