OKULEETAWO ENKYUKAKYUKA: Gen Muntu : Bannabyabufuzi balina kubeera ab’amazima
Akulira ekibiina kya ANTI Maj Gen Mugisha Muntu ategeezezza nti tewali kibiina kisobola kuzza ggwanga ku mbeera abantu gyebagala okujjako nga kirina abakulembeze abeesimbu.Mugisha Muntu bino abyogeredde Busoga ekibiina kye gyekiri mu kaweefube w’okuzuula ebiruma abantu naddala lwaki Busoga esigala nga njavu wadde erima ebikajjo bingi.