Okulabirira ababundabunda, Austria ewaddeyo obuwumbi mukaaga
Eggwanga li Austria lidduukiridde ababundabunda n'ensimbi obuwumbi mukaaga nga zino za kuyamba ababundabunda bafune amazzi, okunyweza obuyonjo kko n'ebirara.Obuyambi buno bujjidde mu kaseera ng’ekitongole ekirabirira abundabunda ki UNHCR kiboyaana n'obuyambi obutakisobozesa kuliisa babundabunda abasukka mu kakadde kamu mu emitwalo kyenda Uganda beerina.