OKUKUKUSA EBY’AMAGUZI: E Busia eriyo akubiddwa amasasi agamusse
Poliisi e Busia eri mu kwetegereza okufa kw’omuvubuka Martin Wanjala agambibwa nti yakubiddwa amasasi agamusse nga kiva ku Ngano gyeyabadde akukusa ku Ggaali okuva e Kenya. Kigambibwa nti yagezezaako okulwanyisa abaserikale abakola n’ekitongole ky’omusolo ekya URA ekirwanyisa okukusa eby’amaguzi.