OKUKASAKA ABALI KU NKALALA: Abagenda okukola omulimu babakalaatidde obuteekuubira
Nga Bannayuganda nga bakyagenda mu maaso n'okukebera amanya gaabwe okukakasa nti bali ku nkalala z'abalonzi aban'enyigira mu kalulu ka 2026, akakiiko k'eby'okulonda e Wakiso kalonze abantu abagenda okubayambako okwekebejja amanya aganaaba gajjiddwa munkalala zino. Bano balondeddwa ku miruka era nga buli muluka gukiikiriddwa abantu bataano ku kakiiko kano. Okusinziira ku kakiiko, bano bagenda okuyambako okukakasa nti ddala amanya agasiimuddwa mu nkalala ddala geego ag'abantu abateekeddwa okujjibwamu. Bano bakubiriziddwa okwewala okukozesebwa n'okubaako kyekubiira nga bakola omulimu gwaabwe.