OKUGONJOOLA ENSONGA: Ssaabalamuzi owiny dollo yeetondedde obwa kabaka
Obuttakaanya wakati w’obwakabaka bwa Buganda ne ssaabalamuzi Alfonze Owniy-Dollo bulabika nga busaliddwa amagezi, oluvannyuma lw’enjuyi zombi okusisinkana newabaawo ebituukibwako. Ensisinkano eno ebadde Bulange Mengo era nga Katikkiro Charles Peter Mayiga y’akyaziizza Ssaabalamuzi. Bannaddiini abeegattira mu kakiiko ka Inter-religious council n’abamu ku bebuziibwako mu bbendobendo ly’e Acholi nabo babaddewo mu lukiiko luno. Solomon kaweesa abaddewo ng’okutu akunkumula.