Okuggyamu ba kamiisona obwesige :Ssekikubo asiibye Arua nga anoonya mikono
Mu kaweefube w'okunoonya emikono egiggya ba kamiisona ba palamenti bana ku bukulu obwo , omubaka wa Lwemiyaga Theodore Ssekikubo wamu n'owa Aringa South , Alioni Odria bali mu bitundu bya Arua. Ssekikubo ne banne oyinza okugamba nti emikono egisigaddeyo baginoonyeza mu kiwato nga mazina olw'ababaka okutandika okubeepena nga wadde baasalawo okubalumba mu bitundu gyebava era nakino tekibabeeredde kyangu.