OKUGGULAWO AMASOMERO: Minisitule y’ebyenjigiriza yaakufulumya enteekateeka
Ssaabaminista Robinah Nabbanja abuulidde Palamenti olwaleero nti minisitule y’ebyenjigiriza eneetera okulaga enteekateeka ey’okuddamu okuggulawo amasomero. Mu kiseera kino, abazadde wonna, bali mu kusoberwa olw’abaana abalabika nga tebasenvula mu by’enjigiriza - okwo ogatteko abaakajja bafune ebyava mu bigezo byabwe ebya P7 abatamanyi oba mu seniro one baanasagamu bannaabwe abagibaddemu okuva mu mwaka oguwedde