OKUGEMA COVID-19: Minisita Aceng asabye abacholi okujjumbira
Kitegeerekese nti ettundutundu lya Acholi kyekimu ku bitundu okugema ssenyiga Covid gyekukyagenda akasoobo olw’abantu obutajjumbira ntekaateka. Bino bitegeerekese nga minisita w’eby’obulamu Jane Ruth Aceng agumbye mu kitundu kino okwongera amaanyi ku kaweefube w’okwegemesa. Eky’abantu obutajjumbira nnyo, abakulembeze bakisibye ku butassa maanyi mu kubuulira enjiri y’okwegemesa.