OKUGATTA BANNAMAWULIRE: UJA esabiddwa okwetereeza
Abatunuulira eby'amawulire bawadde abakulembeze b'ekibiina ekigatta bannamawulire ki Uganda Journalists Association oba UJA okukozesa ebibiina bya bannamawulire mu madiini ag'enjawulo okusobola okwenyweza. Kiddiridde bannamawulire abeenjawulo okweyunira ebibiina ebibagatta mu nzikiriza zaabwe ekiretedde n'abamu okulowooza nti kyoleka obunafu bwa UJA. Wabula akulira UJA Mathias Rukundo agamba nti bannamawulire balina eddembe okubeera mu kibiina kyebaagala.