OKUFAAFAAGANA N’EBOLA: Minisitule y’ebyobulamu terina ssente zimala
Minisitule y'ebyobulamu etegeezezza nga bweterina nsimbi zimala okusobola okulwanyisa ekirwadde kya ebola. Abakulu mu ministule y’ebyobulamu bategeezezza palamenti nga gavumenti bwetawanga minisitule ya byabulamu wadde omunwe gwe nnusu , wadde nga baabategeezza dda nga bwebetaaga obuwumbi 75.
Bano bategeezezza nga obuwumbi obusukka mu bubiri bwebakakozesa bwekwali okwekwatakwata okuva mu ministule eno , nga ekirwadde kibaluseewo.