OKUFA KWA MOHAMMAD KIRUMIRA: Omulamuzi akubye ebituli mu b’oludda oluwaabi
Kkooti enkulu mu Kampala esazeewo nti Abubaker Kalungi alumirizibwa okwenyigira mu kutta ofiisa wa Poliisi Mohammed Kirumira bwatakirizaangako nti yakola omusango guno , nga oludda oluwaabi bwerubadde lugamba. Oludda oluwaabi era lulemereddwa okukakasa nti sitaatimenti gyelututte mu kkooti esobola okukozesebwa nga obujjulizi obuluma Kalungi.