OKUDDAMU OKUSOMA: Poliisi esabye bannayuganda okuba obulindaala eri obutujju
Poliisi erabudde bannauganda okwerinda abatujju mu biseera nga abayizi baddayo ku masomero. Omwogezi wa police mu ggwanga Fred Enanga agamba eggwanga likyali ku bwerinde era nga bannayuganda tebasaanye kwesuulirayo gwa nnagamba naddala mu kiseera kino eky'okuzza abaana ku masomero. Enanga agamba nti kyangu abatujju okukozesa akakisa k’omujjuzo mu bifo eby’olukale okutuusa ku bannayuganda obulabe. Abadde mu kwogerako ne bannamawulire okwa buli wiiki mu Kampala.