OKUDDAABIRIZA OLW’ENTEBBE: Omulimu gwa kumalawo obuwumbi 44
Ssente eziri eyo mu buwumbi 44 ze zigenda okusaasaanyizibwa ab'ekitongole ki Uganda National Roads Authority okuddaabririza oluguudo lw' Ntebe okuva e Mpala okutuuka e Kibuye. Ab’ekitongole ki UNRA bagamba nti okuddaabiriza oluguudo luno oluweza kilometer 22 kwa kumala omwaka gumu era bulinba bwe buti mu mwezi ogw'omunaana, omwaka ogujja, nga luwedde