Okubunya enjiri y’enkyukakyuka, PFF egguddewo ettabi e Mbarara
Leero abakulira ekibiina ki Peoples Front For Fredom basiibye Mbarara nga baggulawo wofiisi ze kibiina,mu kaweefube w’okwongera okusimba emirandira mu ggwanga lyonna.Mu kiwendo kino batambulidde wamu n’akulira ekibiina ki Alliance For National Transformation,Gen Mugisha Muntu nga bano bakaanya batambulire wamu mu lugendo luno.