OBUWUMBI 23 TEZAAKOZESEBWA: Alipoota y’omubalirizi eriko by’eyanise mu by’enjigiriza
Kitegeerekese nti ministule y’eby’enjigiriza yalemererwa okukozesa obuwumbi bwa sillingi 23 ezaali ez’okukubisa eby’okuyamba abayizi okusoma nga bali awaka mu muggalo. Aba wofiisi y’omubalirizi omukulu owa gav’t, Auditor General, bakitegeera nti abakulu mu minisitule baalagira abakozi ku zi district okukwata ssente ezo baziteeke ku akawunti z’amasomero ag’enjawulo agaalina okuganyulwa kyokka ate aba ministule be bamu, ne balagira ab’amasomero ago obutakwata ku ssente ezo ezaali zimaze okutuuka mu zi akawunti. Bino biri mu alipoota y’omubalirizi eya 2020/21 gy’akwasizza Palamenti.