Obutatuuza bayizi bya S.4: Aba disitulikiti ye Terego obuzibu babutadde ku UNEB
Abakulira eby’enjigiriza n’abakulira district y’e Terego si basanyufu n’ekitongole ky’ebigezo ki UNEB ssaako ministry y’ebyenjigiriza olw’okwoleka district yaabwe nti teyatuuzayo mwana n’omu mu kufulumya ebyava mu bigezo bya siniya eyomukaaga. Bagamba kino kittattana ekitiibwa kya district era balowooza n’omuwendo gw’abayizi abatwalibwa ku gavumenti nga bayitidde mũ district gwandiba nga gukosebwa. Abayizi baabwe bakyabalirwa mu district y'e Arua kwe baakutulwa.